Ezekiel 27:9-25

9 aAbasajja abazira ab’e Gebali n’abagezigezi baaberanga mu ggwe,
era ng’omulimu gwabwe kunyweza emiguwa gy’ebyombo;
ebyombo byonna eby’oku nnyanja n’abagoba baabyo bajjanga okusuubula naawe;
nga bagula ebyamaguzi byo.

10 b“ ‘Abantu ab’e Buperusi, ne Luudi ne Puuti
Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya
,
baali mu ggye lyo,
era be baawanikanga engabo n’enkuufiira ku bisenge byo
ne bakuwa ekitiibwa.
11Abasajja ba Aluwadi n’eggye lyabwe
be baakuumanga bbugwe wo enjuuyi zonna;
abasajja b’e Gagammada baabanga mu mirongooti gyo
nga bawanise engabo zaabwe okwetooloola bbugwe wo,
era be baakulabisanga obulungi.
12 d“ ‘Talusiisi yakolanga naawe obusuubuzi obw’obugagga obw’engeri zonna bwe walina, baawanyisanga effeeza, n’ebyuma, n’amabaati n’amasasi bafune ebyamaguzi byo.

13 e“ ‘Buyonaani, Tubali, ne Meseki be baakusuubulangako, nga muwanyisaganya abaddu n’ebintu eby’ebikomo bafune ebintu byammwe.

14 f“ ‘Ab’omu Togaluma baawanyisaganya embalaasi ez’emirimu egya bulijjo, n’embalaasi ez’entalo, n’ennyumbu bafune ebyamaguzi byo.

15 g“ ‘Abasajja ab’e Dedani baasuubulanga naawe, era n’abatuuze ab’oku lubalama lw’ennyanja baali katale ko, nga bakusasula n’amasanga n’emitoogo.

16 h“ ‘Edomu baakolanga naawe eby’obusuubuzi olw’obungi bw’ebintu byo; era baawanyisanga naawe amayinja aga nnawandagala, n’engoye ez’effulungu, n’emirimu egy’eddalizo, ne linena omulungi ne kolali n’amayinja amatwakaavu bafune ebyamaguzi byo.

17 i“ ‘Yuda ne Isirayiri baakolanga naawe eby’obusuubuzi nga bawaanyisa naawe eŋŋaano eyavanga e Minnisi n’ebyakaloosa, n’omubisi gw’enjuki, n’amafuta n’envumbo, bafune ebyamaguzi byo.

18 j“ ‘Olw’obugagga bwo obungi, n’ebintu byo ebingi, Ddamasiko baasuubulanga naawe wayini ow’e Keruboni, n’ebyoya by’endiga ebyeru eby’e Zakari. 19Aba Ddaani ne Yovani (Buyonaani) abaavanga e Wuzari baawanyisanga naawe ekyuma ekiyisiddwa mu muliro n’embawo eza kasiya ne kalamo, ne bagula ebyamaguzi byo.

20“ ‘Dedani yakusuubulangako bulangiti ezakozesebwanga ne mu kwebagala embalaasi.

21 k“ ‘Buwalabu n’abalangira bonna ab’e Kedali baakusuubulangako era ne bakugulako abaana b’endiga, n’endiga ennume n’embuzi.

22 l“ ‘Abasuubuzi ab’e Seeba ne Laama baakolagananga naawe, nga bakusuubulako ebyakaloosa ebisinga byonna obulungi, n’amayinja gonna ag’omuwendo omungi ne zaabu, bafune ebyamaguzi byammwe.

23 m“ ‘Kalani, ne Kaane ne Adeni n’abasuubuzi ab’e Seeba, Asuli, ne Kirumaadi baasuubulanga naawe. 24Mu katale ko baasubulirangamu engoye ennungi, engoye eza bbululu, n’engoye ez’eddalizo, n’ebiwempe ebineekaneeka ebiriko emiguwa emiruke egyalukibwa obulungi.

25“ ‘Ebyombo eby’e Talusiisi
bye byatambuzanga ebyamaguzi byo.
Era wajjula n’oba n’ebintu bingi
wakati mu nnyanja.
Copyright information for LugEEEE